anny 19-20; Yak 5:18

1 Kings 18:41-45

Ekyeya Kikoma

41Eriya n’agamba Akabu nti, “Genda olye, n’okunywa onywe; kubanga waliwo okubwatuka kw’enkuba ey’amaanyi.” 42 aAwo Akabu n’agenda okulya n’okunywa, naye Eriya n’alinnya ku ntikko y’olusozi Kalumeeri, n’akutama, n’ateeka omutwe gwe wakati w’amaviivi ge.

43N’agamba omuweereza we nti, “Yambuka, olengere okwolekera ennyanja.”

Omuweereza n’agenda n’alaba n’akomawo n’amugamba nti, “Teri kye ndabyewo.”

Eriya n’amugamba addeyo emirundi musanvu.

44 bKu mulundi ogw’omusanvu omuweereza n’akomawo n’agamba nti, “Laba, ekire ekitono ekyenkana ng’omukono gw’omuntu kyambuka okuva mu nnyanja.”

Eriya n’amugamba nti, “Genda ogambe Akabu nti, ‘Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba nga tennakuziyiza.’ ”

45Mu kiseera kyekimu, eggulu ne libindabinda, kibuyaga ne yeeyongera, enkuba ey’amaanyi n’ejja, Akabu n’ayolekera e Yezuleeri.
Copyright information for LugEEEE